‘Oba nganyulwa mu basibe kale mu bate’ : Bobi Wine asomoozeezza gavumenti
Akulira ekibiina kya National Unity Platform oba NUP Robert Kyagulanyi Ssetamu asomoozesa gavumenti okuta abawagizi be bweba erowooza nti bwebabeera mu kkomera alina kyakifunamu nga omuntu. Kyagulanyi abadde ayanukula abagamba nti alina kyafuna mu kyabawagizi be abamaze emyaka essatu mu kkomera so nga waliwo n'abatamanyiddwako mayitire . Leero ono asembeza abenganda zabawaagizi ba NUP abawatibwa nalya nabo Eid mu makaage e Magere.