‘Nkutwala mu kkooti’ Mpuuga alabudde Kyagulanyi ku kumulebula
Omubaka wa Nyendo Mukungwe Mathias Mpuuga atubuulidde nti ateekateeka kutwala akulira ekibiina ki NUP Robert Kyagulanyi Ssentamu ne n’omubaka wa Makindye West Allan Ssewannyana mu mbuga z’amateeka nga abalanga kumulebula.Mpuuga agamba nti bano bombiriri yabawulidde nga babuulira eggwanga nti yeyali e mabega w’okusiba ababaka okwali omugenzi Muhammad Ssegirinya ne Allan Ssewanyana kale nga ayagala ebigambi bino babiddemu nga bali mu Kkooti.