‘Mwogere ku biruma abantu’, Katikkiro akalaatidde abavubuka ba NRM
Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga abuulidde abavubuka bannakibiina ki NRM okutandika okwogera ku butali bwenkanya obuli mu ggwanga mu kifo ky’okusirika nga ebikolobero bikolebwa ku bannayuganda.Katikkiro agambye nti ebikolwa nga eby’obulyake,okuwamba abantu kko n’okubatulugunya bikosa buli omu,kale nga bagwana bakome okwekweka mu kibiina kye bawagira, babeera balambulukufu ku nsonga nga zino.Bino katikkiro abibuulidde bavubuka abaagizi bekibiina ki NRM wansi wekisindde ki NRM Youth League ababade bakiise embuga.