Empaka z’amasaza: Buluuli yeeyongedde essuubi olw’obuwanguzi bwe yafunye
Oluvannyuma lw'okukuba Bulemeezi ggoolo emu ku bwereere olunaku lw'eggulo mu mupiira ogwaguddewo empaka z'Amasaza ga Buganda e Kasana Luwero, ab'essaza ly'e Buluuli bagamba nti baakwongera okwetereeza okulaba nga bagenda mu maaso n'okuwangula enzannya eziddako. Bano baakudda mu nsiike nga Musanvu omwezi ogujja bwe banaaba battunka ne Butambala e Kakooge.