TWAGALA KUTULIYIRIRA : Abatuuze e Namatumba batabuukidde aba Dott services
Abatuuze okuva ku byalo bisatu mu gombolola y’ Magada e Namutumba bavudde mu mbeera nebalumba kampuni enkola enguudo eya Dott Services nga bagyiranga kulemererwa baliyirira. Bano bagamba kampuni eno eyasa amayinja eboononedde buli kimu nga n’enyumba zaabwe zizeemu enyaafa endala zigudde n’okuggwa.