SSEMATEEKA W'OBUSIRAMU: Obukwakulizo ku kifo kya Mufti bweyongedde
Enkiiko z’abasiraamu mu ggwanga omuli lwa General Assembly, executive ne Majilisi Ulama oba olukiiko lw’abamanyi zasatuluddwa ekiro ky’eggulo era nga kati akakiiko k’eby’okulonda kalindiriddwa okulangirira enakku z’okulonda okusobola okujjuza enkiiko zino. Kino kidiridde enkyukakyuka ezakoleddwa mu ssemateeka afuga obusiraamu, nga kati waliwo n’obukwakulizzo obutekedwawo kubagenda okwesimbawo ku bifo eby’enjawulo naddala ekya Mufti, olina okuba omusuni nga ali wakati w’emyaka 40-70.