Pulezidenti Museveni asabye abakulembeze b’ennono okukuuma obuwangwa
Pulezidenti Museveni asabye abakulembeze b’ennono mu ggwanga lyona okukuuma obuwangwa bwabwe nga bakubiriza abantu obutewebuula olw’emize gyebayiga mu mawanga g’abazungu. Obubaka buno abutisse Ssaabaminita Robinah Nabbanja amukiikiridde ku mukolo gy’okujjaguza nga bwegyiweze emyaka 30 nga Omukama Dr. Solomon Gafabusa Iguru ow’oluberyeberye akulembera Obukama bwa Bunyoro. Ate bbo abakulembeze mu Bunyoro batadde Omuhiikirwa ku ninga anyonyole ebikwata ku bulamu bw’omukama bwekiba kyetaagisa sente bazisonde asobole okutwalibwa mu ddwaliro.