Poliisi eriko emmotoka ya buyonjo gy’esise okuva ku kiggwa ky’abakatuliki e Namugongo
Poliisi eriko emmotoka ya buyonjo gy’esise okuva ku kiggwa ky’abakatuliki e Namugongo oluvanyuma lw’embwa yaayo ebadde erawuna okugyesibako. Mukiseera kino ab’eby’okwerinda okuva mu buli kitongole kya byakwerinda bonna bayiiriddwa ku kiggwa ky’abakatulikiti okulaba nga eby’okwerinda binywezebwa olw’obungi bw’abalamazi okweyongera ku kiggwa kino.