Okulwanyisa mukenenya: Abasaasanya eddagala tebalina ssente za ntambula
Abakulu abaddukanya Uganda AIDS Commission babuulidde ababaka ba palamenti nti eddagala eriweweezza akawuka akaleeta mukenenya mweliri mu ggwanga kyoka basanze obuzibu bwa ssente okulitambuza okulituusa mu malwaliro n’ebifo ebyenjawulo ewali abalyetaaga. Bano bagamba nti kati bagala gavumenti ebayambeko basobole okufuna kavu wa buwumbi lugakaaga okusobola okutambuza eddagala lino okutuuka mu bantu. Bino bibadde mu kakiiko ka palamenti akalondoola emirimu gy’ebitingole bya gavumenti ebyenjawulo ka COSASE bwebabdde bazze okwewozako ku nsasaanya ya ssente zaabwe ez’omwaka gw’ebyensimbi 2023/2025.