OMUSANGO GWA SSEWANYANA NE SSEGIRINYA: Omuwaabi wa gavumenti agamba atiisibwatiisibwa
E Masaka omulamuzi awulira omusango ogw’obutemu oguvunaanwa ababaka okuli Allan ssewanyana owa Makindye East ne Muhammad Ssegirinya owa kawempe South okutuuka nga 2 omwezi ogujja. Kyoka mu kooti eno omuwaabi wa gavumenti yeekubidde enduulu nga bwewaliwo abantu abamutisatiisa okumutta singa tave mu musango.