Omusajja e Ssenge ali mu maziga oluvanyuma lwa mukyala we okumubulako kati sabiiti bbiri
E Ssenge mu disitulikiti y’e Wakiso gyetusanze omusajja ali mu maziga oluvanyuma lwa mukyala we okumubulako kati sabiiti bbiri. Twaha Ssentongo, agamba omukyala okubula tebaalina butakkaanya bwona, wabula yatandiikiriza mpola okumugamba nga bwamuloota nga afudde ekintu ekyali kimumazeeko emirembe. Omukyala ayogerwako ye Faridah Najjuuko nga atemera mu gy’obukulu 35.