Omukyala Annet Nabwire atubidde ne muwala we eyagongobala
E Nakirebe mu disitulikiti y’e Mpigi, eriyo omukyala Annet Nabwire atubidde ne muwala we eyagongobala nga talina kyasobola kukola.
Agamba embeera emuyinze kuba omwana yeyongera kukula, n’ebyetaago byeyongera wabula nga talina busobozi, kati asaba muzira kisa yenna okumuddukirira n’akagaali muwala we mwasobola okumutambuliza kuba abuzito bungi takyasobola kumusitula.