Kkampeyini za NRM e Busia: Abawagizi ba Mulimba ne Wandera balwanaganye
Kitegeerekese nga abantu babiri bwebakoseddwa mu kavuvungano akaabaluseewo mu tawuni ye Namugondi mu disitulikiti ye Busia nga bannakibiina ki NRM abeegwanyiza ekifo ky'omubaka wa palamenti ekya Samia Bugwe North, bakuyega obuwagizi okuva mubalonzi baabwe , kyokka nga n'omuntu omu kitegererekese nga bweyafumitiddwa ebiso ebyamuviiriddeko okufa nga ava ku lukungaana luno mu kiro ekyakeesezza olunaku lwaleero. Okusinziira ku poliisi, eyafudde yategeerekese nga Samia Polly Bwire nga wa myaka 19, nga ono yabadde muwagizi wa omu kubesimbewo okuvuganya kukifo kyomubaka wa Bugwe North John paul Wandera mu kamyufu ka ekibiina ki NRM.