Okulwanyisa ebikyupuli: waliwo abaagala ebibonerezo ebikakali
Ebitongole ebirwanyisa okutundu n’okukola ebintu by’ebikyupuli mu ggwanga byagala wassibwewo ebibonerezo ebikakali eri abeenyigira mu kukyupula ebintu ebyenjawulo bannayuganda bye bakozesa Bano bagamba nti wadde waliwo amateeka ku Bikyupule, ebibonerezo ebirimu binafu ekyongedde omuze gw'okukola n'okutunda ebiccupule okweyongera Bano basabye Palamenti ekole enoongoosereza mu maateeka gano okussaamu ebibonerezo ebigwanidde okusobola okukoma ku bakyupula