Aba NRM e Luweero bakubaganye empawa ku kukozesa ‘eggaali’
Wabaddewo okukubagana empawa wakati w’abesimbyewo okuvuganya ku kaddi y’e kibiina kya NRM, abakulira ekibiina n’abeby'okwerinda mu disitulikiti y’e Luwero ng’entabwe eva ku kuwera bibinja by’abavubuka ebyakazibwako eggaali mu kalulu ka NRM. Ab’ebyokwerinda beweredde okukwata abavubuka abanabeera ku ggaali zino nga bamenya amateeka naddala okukola effujo songa abeesimbyewo nabo balemeddeko malusu na dokooli nga bagamba nti teri agenda kubalemesa gaali zaabwe. Herbert Kamoga yali mu bitundu by’e Luwero era ensonga eno yagigoberedde.