Omukazi yasazeeko omusajja ebitundu bye eby’ekyama
Poliisi mu disitulikiti y’e Kyotera ekutte omukazi agambibwa okuba nga yasazeeko omusajja ebitundu bye eby’ekyama. Omugenzi y’e Reagan Karamaji ow’emyaka 37 abadde omutuuze wa Kabaawo zone mu Town council y’e Mutukula mu district y’e Kyotera nga abadde dereva wa mmotoka eziyingira mu ggwanga lya Uganda wano ku nsalo ya Uganda ne Tanzania.