OLUTINDO LWA TANTARA LWAGWAMU :Ab'e Masindi tebakyala
Amaka agasoba 500 mu gombola y’e Pakanyi mu Masindi gasobeddwa oluvanyuma lw’omugga Tantara okubooga negusalako ekkubo nga kati tebasobola kusala kudda mitala.
Bano basabye abakulembeze baabwe okubadduukirira kuba emirimu gyabwe gifudde nga n’abaana tebakyasobola kusala kugenda ku somero.