Olutalo ku bifo bya NRM, Kadaga atandise okulumiriza Among
Eyaliko sipiika wa Palamenti Rebeca Kadaga era minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’omukago gwa East Africa, agugumbudde munne eyamuddira mu bigere sipiika Anita Among ng’amulanga okukotoggera enkulaakulana ye mungeri y’okwegula obuganzi mu bantu. Kadaga bibno yabyogeredde mu kutongoza enteekateeka y’okulima kamulira ne soya.