OKUTUMBULA EBY'OBULIMI : Yiino ensowera ey'enkizo mu ddimu lino
Mukaweefube w'okutumbula eby'obulumi n'obulinzi, aba Uganda Martyrs University batongozza enteekateeka y'okuyigiriza abalunzi n'abalimi kulunda ensowera emanyiddwa nga "BLACK SLOLDIER FLY LARVEA" eyeyambisibwa mukukola y’ebisolo n’ebijimusa. Okusinziira ku Dr.Joseph Ssemakula eyakuliddemu enteekateeka eno agamba okunoonyereza kuno baakukoledde emyaka ebiri ku nsowera eno.