OKUSITULA OMWANA OMUWALA :Mu Kampala baakusomesebwa ku kweyogerera
Abawala kko n’abakyala bakubiriziddwa okukozesa akalemebereza ak’omwenkanonkano okusitula edoboozi lyabwe, kko n’okufuuka ab’enkizo mu ggwanga. Bino byogeddwa akulira oludde olw’ekikugu mu KCCA Dorothy Kisaka bwabadde atongoza entekateeka etuumiddwa SHE LEADS mu Kampala egendereddwamu okukyusa ekifaananyi ky’omwana omuwala nebannakazadde b’eggwanga mu Kampala.