OKULANGIRIGANA MU BAKKANSALA E WAKISO : Beerumirizza kuby'okusisinkana pulezidenti
Ba kansala ba kanso y’e Wakiso beerangidde okweryamu enkwe wakati w’abagenda e Garuga okusisinkana omukulembeze w’eggwanga n’abo abaasigala naddala bannakibiina kya NUP.
Abamu babadde baagala sipiika wa kanso eno ab’etondere kwebyo byeyaboogerako nga bagenze mu musomo guno ogwali gutegekeddwa amaka g’omukulembeze w’eggwanga.
Abamu batuttotoledde embeera eyali gyebaalaga mu musomo guno.