Obubaka bwa Eid Al Adha, Ssaabasajja aliko by’ayagala bikome
Nga Abayisiramu mu nsi yonna batekateeka okukuza Eid Aduha olunaku olw'enkya , Ssabasajja kabaka aliko obubaka bw'abaweereza nga abakulisa okutuuka ku lunaku luno.Mu bubakabwe , Kabaka aliko ensonga ssatu zakutidde abakulira enzikiriza y'obusiramu okuzisoosowaza, nga kuno kuliko okukubiriza abantu obutakoowa kuwonga Bwakabaka ne uganda yonna mu mikono gya Allah asobole okubayisa mu mbeera ezibanyigiriza n'ezo ekibalemesa okweyagalira mu nsi yaabwe.