Minisita Lukia Nakadaama mwenyamivu olw’abazadde ab’ekobaana n’abakabasanya abaana
Omumyuuka wa Ssabaminisita ow’okusatu Lukia Nakadaama alaze obwenyamivu olw’abazadde ab’ekobaana n’abakabasanya abaana, nebatatwala misango gyino mu b’obuyinza okuvunaanibwa. Okusiziira ku Nakadama, kuno kuba kutyoboola ddembe lya mwana. Okwogera bino babadde mulukungaana lwakutema mpenda ku butya bwebasobola okulwanyisa okulinyirira eddembe ly’abaana.