Marvin Lutaaya anoonya kitaawe eyaleka maama ng'ali lubuuto (0787-290-457)
Omukwano kko n’okubaawo kw’abazadde bombi mu bulamu bw’abaaana baabwe kyekimu ku birabo eby’enkizo ebisuubirwa mu buli muzadde.
Ekyennaku abaana abamu tebaafunye ssanyu lino
E Wantoni mu munisipaali ye Mukono gyetusanze omuvubuka Marvin Joseph Lutaaya alojja ennaku gyalabye oluvanyuma lwa kitaawe Joseph Ssemwanga,okubula ku nnyina nga Milly Ndagire nga akyali bujje.
Omuvuka ono kati wa myaka 19 , kyoka talaba nga ku kitaawe.