Fuso y'amatooke etomedde Noah, omu afudde
Omuyizi wa siniya nga wa myaka 18 y’afiiridde mu kabenje akagudde e Kkoba - Lungala ku lugoodo lw’e Masaka e Mpigi. Ono abadde ne kitaawe, jjajja we n'abalala nga kigambibwa babadde bagende Rukungiri nga babadde mu motoka ekika kya Noah bwetomereganye ne Fuso.