Eyatemako omuwala omukono kooti y’e Manafwa emusalidde emyaka 15 agy’ebake mu nkomyo
Mu mwezi gw’omusanvu mu mwaka gwa 2020, twakulaga omuwala eyali ow’emyaka 16 eyatemebwako omukono ggwe ogwakkono omusajja bweyali amukaka omukwano. Omuvubuka eyakola kino ye Derrick Kuloba era kooti y’e Manafwa emusalidde emyaka 15 agy’ebake mu nkomyo oluvanyuma lw’okumusingisa ogw’okugezaako okutta omuntu. Omulamuzi wa Kooti eno Esther Nalungi era amulagidde okuliwa ensimbi obukadde 50 eri ab’enyumba y’omuwala olw’obuvune bweyamutuusaako.