EYAFIIRA MU SANYA E LUWEERO: Poliisi omulambo egututte, abatuuze bawera
Olunaku lw’eggulo twakulaze famile ng’eriko omusawo ku ddwaliro ly’e Luwero gwerumirizza okulagajjalira omuntu waabwe n’atuuka okufa ng’azaala. Specioza Namisango eyali atemera mu gy’obukulu 34 yeyafudde.
Kati Poliisi eyingidde mu nsonga zino era etandise okubuliriza ku ngeri ono gyeyafuddemu.