ETTAKA LY'E MUTUNGO LIBIZADDE : Abeenyigira mu kugoba abantu bakwatiddwa
Abantu 2 ababadde beeyita ba nnanyini ttaka ly’e Mutungo mu zooni ya Kasaawe erimaze ebbanga nga liriko enkaayana bakwatiddwa abakakiiko akalwanyisa obulyake akakulibwa Col. Edith Nakalema oluvanyuma lw’okukola okunoonyereza. Okusinziira ku alipoota efulumiziddwa bano bebabadde basibukako emivuyo ku ttaka lino. Kati abaakakwatibwa baweze 9 nga n’abalala bakyanoonyezebwa.