Enkuba eyatonye e Mpigi bangi yabalese tebalina wa kusula
Amaka agasoba mu makumi 30 mu waadi ya Nabusanke e Kayabwe mu Mpigi, basobeddwa oluvannyuma lw'enkuba eyatonnye mu kitundu kyabwe nebaleka nga beeyaguza lugyo. Abamu enyumba zabwe zasigadde ku ttaka nga kwotadde n’ebirime. Kati bano basaba kuyambibwa.