ENKAAYANA KU TTAKA E BUYIKWE: Kkooti eyimirizza olukiiko olubadde luyitiddwa RDC
Olukiiko olubadde luyitiddwa amyuka RDC w’e Buyikwe Sanon Daala ku kyalo Najja okugonjoola enkaayana ku ttaka lugudde butaka oluvanyuma lw’abamu ku batuuze okwekubira enduulu mu kkooti enkulu efulumizza ekiwandiiko ekigaana olukiiko luno okugenda mu maaso.
Okusinziira ku batuuze RDC ono yekobaana n’abayagala okubagoba kuttaka agamba nti yaligula nga ate nabo balina ekyapa kyalo. Wakati mu byokwerinda olukiiko luno luyimiriziddwa.