EKIKANGABWA: Omuvubuka ekumye ku nyumba ya mwanyina omurilo e Katolerwa-Bukomansimbi
Abatuuze ku kyalo Katolerwa mu gombolola ya Kibinge mu disitulikiti y’e Bukomansimbi bawaniikiridde omusajja bwakakkanye ku nnyumba ya mwannyina naagiteekera omuliro ebintu byonna ebibaddemu ne bisirila.
Okusinziira ku batuuze ono abadde n’obutakaanya ne mwanyina kyokka okukola kino yasoose kwesuulamu kazoole n’atandika okugenda nga bwakuba abantu okukakkana nga asibidde ku nyumba ya mwanyina.