EBY'ENTAMBULA BISANYALADDE E HOIMA :Liita ya petuloori etuuse ku 12,000
E Hoima abasaabaze kko n’abavuga ebidduka bakaaba twawa nga kino kiddiridde amafuta okulinya ebeeyi. Tukitegedde nti lita y’amafuta aga Petulooli etuuse 12,000, okuva ku 7,000 webwawungeredde olunaku lw’eggulo. Abadukanya amasundiro g’amafuta bagamba nti omutawaana guvudde ku ntambuza yaago enzibu okuva e Kampala.