Eby’entambula bigotaanye, ekyuma kya Kenya ekikebera emmotoka eziva mu Uganda kiyite bwekifudde
Ku nsalo ya Uganda ne Kenya e Malaba eby’entambula bigotaanye, ekyuma kya Kenya ekikebera emmotoka eziva mu Uganda kiyite ki scanner bwekifudde ekiviiriddeko emmotoka naddala ennetisi z’ebyamaguzi okukonkomala. Minisita w’eggwanga lya kenya akola ku by’entambula Kipchumba Murukomen asuubizza nti akadde konna baleeta ekyuma ekirala eby’entambula biddemu okutojjera.