Ebbago ku tteeka ly'ebyobulimi: Ababaka ba palamenti batandise okusisinkana abalimi
Akakiiko k’eby’obulimi, obuvubi n’obulunzi aka palamenti katandise kaweefube w’okutalaaga eggwanga okusisinkana abalimi n’abalunzi ku nnongoosereza zebaagala okuleeta mu tteeka ly’eby’obulimi li Contract Farming Bill 2023.Ebbago lino ligenderera kuteekawo obulimi obugoberera okukola endagano wakati w’abalimi n’abasubuzi.Olunaku lw’eggulo bano baabadde Mubende.