E Mubende omwami wa Kabaka apookya, abaana beeyekuliza baamukuba lwa kibanja
Omwami wa Kabaka owa Saabagabo Kasambya mu disitulikiti y’e Mubende mukiseera kino ali kundiri oluvanyuma lw’okukubibwa abaana beyakuza nga bamulanga kugaana kutunda ttaka lye. Kigambibwa nti abaana bano bakwatibwa kyoka nebayimbulwa nga mukiseera kino ali mukutya nti bandiddamu okumulumba. Era alumiriza abakulembeze ku kitundu kino okwekobaana n’abaana bano okwagala okumutunza ebibye ku mpaka.