Abazadde balumbye essomero, obuzibu bwa kizimbe ekitannamalirizibwa
Abazadde balumbye esomero lya Nawangaiza Primary school e Balawoli mu Kamuli nga balumiriza omukulu w’essomero okubambulako akasolya akaali ku kizimbe ky’esomero lino nga abasuubiza nga bwebagenda okuzaako akalala kyokka n’okutuusa kati ekitakolebwanga. Abazadde kyebakoze kwekukung’aanya essubi bbo beeserekere ekizimbe kino ekikyankalanyiza eby’ensoma ku somero lino.