ABAYIZI TEBALABIKAKO MU MASOMERO: E Wakiso bakitadde ku kulima mayirungi
Abasomesa mu masomero ga gavumenti balaze obwenyamivu eri abazadde abakyalemezza abaana ewaka newankubadde nga olusoma olw’okusatu lwaddamu dda kati wiiki bbiri.
Kigambibwa nti abaana bangi bali mukunoga mayirungi naddala mu bitundu gyegalimibwa.
Ssentebe wa disitulikiti y’e Wakiso Matia Lwanga Bwanika anenyeza abazadde abesuuliddeyo ogwannagamba okuweerera abaana.