Abatuuze ku byalo 7 mu muluka gwa Ittaka Ibolu bakubye olukiiko okulwanyisa obumenyi bw’amateeka
Abatuuze ku byalo 7 okuva mu muluka gwa Ittaka Ibolu mu disitulikiti y’e Jinja bakubye olukiiko ku kyalo Kigalagala olugendereddwamu okulwanyisa obumenyi bw’amateeka obuviira ddala mu baana babwe benyini. Buli muzadde okusinziira ku biragiro by’abakulembeze abadde alina okubaawo n’abaana be, era abasongeddwamu olunywe, bazadde babwe babayisizzaamu empi.