Abatuuze be Gombe, Wakiso balumbye poliisi
Abatuuze e Gombe mu munisipaali y’e Nansana bavudde mu mbeera nebalumba poliisi y’e Gombe nga baagala ebawe omuntu gwebateebereza okutemula munaabwe nebabba pikipiki.
Bano ababadde mu lukiiko lw’eby’okwerinda naye tebalukkiriza kuggwa nebalumba poliisi naye kyekoze kwekumujjawo n’emwongerayo okwewala ebyandiddiridde.