Abasenze ku ttaka lya Kabaka e Ssembabule basabiddwa okukozesa ettaka lino obulungi
Abasenze ku ttaka lya Kabaka e Ssembabule basabiddwa okukozesa ettaka lino obulungi n’abazzukulu basobole okuganyulwamu. Kigambibwa nti waliwo abegumbulidde omuze gw’okukuba ebyapa ku ttaka lino ate nga bakimanyi bulungi nti lya Kabaka. Akakiiko k’e Ttaka mu bwakabaka nga kakulembeddwamu omulangira Wasajja kabadde kalambula ttaka lya kabaka mu kitundu kino.