Abalwadde b'obwongo beeyongedde, e Butabika bafuna abalwadde 20-50 buli lunaku
Abaddukanya eddwaliro ly’abalwade b’emitwe e Butabika bategeezeza nga bwewakyaliwo eddibu lya abasawo abajjanjaba abantu abalina obulwadde buno ate nga buli lunaku bafuna abalwadde abali wakati wa makumi 20 - 50. Dr. Juliet Nakku akulira eddwaliro lino okwogera bwati abadde ku mukolo gwakutikkira ba Nurse abamaliriza emisomo gyabwe okujjanjaba obulwadde bw’emitwe ku Butabika School of Psychiatric Nursing.