Abalondola obucupa e Masaka boogedde obuzibu bwe bayitamu
Ekitongole ekirwanirira okukuuma obutonde bw'ensi ki Eco Bricks ekisangibwa e Masaka kyennyamidde ku ngeri abakola amateeka ku kukuuma obutonde bw'ensi gyebalemererwamu okugateekesa mu nkola.
Okwogera bino kibadde kisisinkanye abakozi bakyo abali mu mulimu gw'okulonda obukyupa mu kitundu kino okulaba obuzibu bwebasanze mu mulimu guno n’engeri y’okugugonjoola.