Abalamazi abasimbula e Jinja batuuse e Namugongo
Oluvanyuma lw’ennaku ssatu nga batambula, abalamazi abaavudde e Jinja kyaddaaki batuuse ku kiggwa ky’abajulizi ekyabakatuliki e Namugongo wakati mu ssanyu n’okukyakyankya.Atwala essaza ly’e Jinja Bishop Charles Martin Wamika yakulembeddemu abalamazi bano era e Namugongo batuukidde mu bitiibwa n’okwanirizibwa mu bugumu.Essaza ly’e Jinja lyerikulembeddemu okutegeka emikolo gy’abajulizi egy’omwaka guno ku kiggwa ky’abakatuliki.