Abakolera mu lutobazi lwa Kasooka e Masaka bagobeddwa
Poliisi ekuuma obutonde bw’ensi e Masaka, abakulembeze mu Masaka kko ne RCC wa Masaka balambudde ekisenya kya Kassooka gyebaymiririza buli mulimu ogukolebwayo. Kino kiddiridde okufuna amawulire nti ekisenyi kino kisaanyizibwawo buli lukya, era bano basuubiza n’omusomo gw’abatuuze okubamanyisa obulungi obuli mu kukuuma obutonde bwe nsi.