Abakkiriza beeyiye mu Mabira okusabira omulamazi w’e Kenya eyafiira mu akabenje
Ebikumi ne bikumi bya balamazi okuva mu Uganda ne Kenya olwaleero beeyiye mu mabira mu disitulikiti y’e Buyikwe ku ssaawa satu ez’okumakya okusabira omulamazi w’e Ggwanga lya Kenya John Kibe eyafiira mu akabenje akagwa mu bitundu kino nga 31 May 1998. Okusaba kuno kukulembedwamu ekanisa ya St. Kaloli e Mbiiko ekulirwa Fr. Joe King.