Abakiriza bakunganye okusabira Bishop Lwanga e Namugoona
Abantu ab’enjawulo batenderezza obuvumu n'emirimu egyakolebwa eyali Ssaabalabirizi wa Orthodox Church omugenzi Yonna Lwanga. Bagamba ono teyeryanga ntama ku mbeera y’okutyoboola eddembe ly’obuntu n’ebikolwa ebikyamu mu ggwanga. Olwoleero abasodookisi bakungaanye okusabira omwoyo gwe ku lutikko ya St. Nicholas e Namug’oona.