ABAANA ABAGAMABIBWA OKULYA OBUTWA : Omukulu w'essomero naye akwatiddwa
Poliisi ekutte omukulu w’esomero lya Golden Learning Center erisangibwa e Namungo e Mityana oluvanyuma lw’abaana okulya emmere egambibwa okubaamu obutwa.
Mukiseera kino abakwate baweze basatu nga ono agatiddwa ku bafumbi ababiri abakwatiddwa - tutuseeko mu malwaliro eyaddusiddwa abaana bano nga abasinga basiibuddwa.