Ab'e Ndagwe, Lwengo bekalakaasizza olw'o kumala emyaka 4 nga tebayina amassanyalazze
Mu disitulikiti ye Lwengo mu gombolola ye Ndaggwe waliyo abatuuze ku byalo 4 abeekumyemu ogutaaka nga bagamba nti bamaze kyenkana emyaka enna nga tebalina masanyalaze.
Ebyalo ebikoseddwa kuliko Kaapa, Kibuye, Kagogwa ne Ndagwe nga bano bagamba nti bukyanga masanyalaze gaabwe gavaako mu mwaka 2017 tebaddangamu kulaba wa masanyalaze ajja kugazaako.