11 bakwatiddwa e Njeru, babadde basimba obukonge mu ttaka lya gav't
Abantu 11 bebakwatiddwa oluvanyuma lw’okusangibwa nga basimba obukonge kuttaka lya gav’t eriwezaako yiika 56 e Njeru. Gyebuvuddeko bakansala beekubira enduulu nga ettaka lino lisendebwa era byonna ebyali bikolebwa ku ttaka lino nebiyimirizibwa okutuusa nga obutakaanya obuliriko bugonjoddwa kyoka ate kibaweddeko okulaba nga waliwo ate abantu abazze okulisimbako obukonge kwekukwatibwa.