Zaake waakwekubira enduulu eri Palamenti
Munnamateeka w'omubaka Francis Zaake, Erias Lukwago atubuulidde nti bagenda kuwandiikira abaddukanya palamenti okulaba nga bateeka ensala ya kkooti munkola, omuli kuddiza Zaake ekifo kya Kamisona wa palamenti sako n'okumuliyirira ebbanga ly'amaze nga yagobwa ku kifo kino. Ye Omubaka Zaake agamba nti eky'omugoba ku bwa kamiisona kyamuswaza nnyo era ng'embeera mwayise okuva lweyagobwa ebadde ya bugubi.